AMALWALIRO TEMULI DDAGALA: Ababaka batadde gavumenti ku nninga
Ababaka ba palamenti bakkukulumye olw’eddagala eriwedde mu malwaliro ensangi zino ekigootanyizza eby’enzijjanjaba mu bitundu gyebava.
Omubaka w'ebizinga bye buvuma yeeyasoose okwanja alipoota eno eri palamenti oluvannyuma n'ababaka abalala nebakkiriza nti ddala ekiri mu bitundu gyebava kifumba mu ttuku.
Kyokka ekitongole ekikola ku by'okutambuza n'okugaba eddagala ekya National medical stores kigagamba nti obuzibu buno ddala weebuli naye nga buvudde ku bbula lyansimbi ,wabula nga gavumenti ekola kyona ekisoboka okutereeza embeera.