Alipooota ekwata ku byali mu kalulu k’e Kawempe efulumye
Alipooota ekwata ku byali mu kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North efulumiziddwa omukago ogutaba ebibiina by'ebyobufuzi ogwa National Consultative Forum eraze nti ab'ebyokwerinda naddala amagye kwo ba RDC baawamba obunyinza bw'akakiiko K'ebyokulonda mu bifo eby'enjawulo awaakubirwa akalulu.Awatali kweyawulamu, abakiikirira ebibiina mu mukago guno baagala buli yeenyigira mu mivuyo gino avunaanibwe mu mbuga z'amateeka .