AKOLA OBULUNGI ASIIMIBWA: Kisaka asisinkanye abeera e Kibuga
Abakulu mu kitongole ki KCCA basisinkanye abakola ogw’okuyonja ekibuga Kampala, okubasiima olw’omulimu gwebakola.
Nnankulu wa Kampala Dorothy Kisaka bano abasuubiza nga bwebagenda okusooka okubabala amanye omuwendo gwabwe asobole okulaba engeri gyebadduukirirwamu.