AKALULU KE GOGONYA: Owa NUP awanduse, ab’oludda oluvuganya basattira
Ab'oludda oluvuganya mu kalulu k'ekuddamu okulonda omubaka wa Gogonya bali mu kusoberwa oluvanyyuma lwa munna NUP Joseph Okoboi okuva mu lwokaano. Okoboi ono aba FDC gwe baalekera avuganye ne NRM mu kalulu kano mu nkolagana empya gye bakakkiriziganyako okusobola okufuna obuwanguzi. Emorimori wa Teso Papa Paul Sande afulumizza ekiwandiiko ekiraga nga bwebakiriziganyiza ne Okoboi abiveemu okwewala okusika omuguwa.