AKABENJE E BUWAMA : Babiri bafudde , pajero ebuutikiddwa amazzi
Abantu babiri bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje e Mpigi, motoka bbiri bwezitomereganye mu kitoogo ekimanyiddwa nga Kibukuta okumpi ne Jalia City mu Buwama Town Council ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.Mmotoka zombi okuli Pajero ne Loole y'omusenyu eya Sinotruck zikomekkeredde mu mazzi g'ekitoogo.