Abavubuka b’effujjo babasomedde gwa bubbi, kkooti ebasindise ku alimanda
Abavubuka abagambibwa okuba abawagizi ba NRM, abaakwatibwa Poliisi olw'okukola effujjo ku bannakampala ko n'okubanyaga ku lunaku Pulezidenti Museveni lweyaggyayo empapula okuvuganya ku bwa ssentebe bw'ekibiina n'okukikwatira bendera ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga, leero basimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road ne LDC.Bano bagguddwako emisango gy'obubbi era bwe batyo ne basindikibwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 18 omwezi guno. Kubano era kubaddeko abaana basatu kkooti beesindise ku alimanda mu kkomera ly'abaana e Naguru.