Abasomesa ba Arts bakkirizza okuddayo mu bibiina, bakkaanyizza ne Museveni
Kitegeerekese ng'Abasomesa ba Arts bwe bakkirizza okudda mu bibiina basomese oluvannyuma lw'okubaako bye bakkaanya n'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni mu nsisinkano gye baabaddemu naye olunaku lw'eggulo. Mu byakaanyiziddwamu mulimu eky'okwongeza emisaala gy'abasomesa bano mu biwagu bya mirundi ena okutandika n'omwaka gw'ebyensimbi ogujja. Bano baakwongezebwa ebitundu 25 ku musaala oguweebwa banaabwe aba sayansi.Kyokka abasomesa bano bagamba nti singa bakizuula nga mu nteekateeka y'embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja ensonga yaabwe ebuusibwa amaaso, baakuddemu akeediimo kaabwe.