Abakaramoja abawaddeyo emmundu baliko bye basabye gavumenti
Waliwo abanyazi b'ente mu bitundu bye Kotido abawaddeyo emmundu bbiri eri eggye lya UPDF erikola obweziziingire okuzza emirembe mu bbendobendo lya Karamoja. Bino bibaddewo mu nsinsikano ebadde, mu district ye kotido wakati w'abakulu mu UPDF n'abatuze. Bano era basabye gavumenti etuukirize obweyamo bweyabawa okuli okubawa amabaati, n'enkola z'okwejja mu bwavu. Baker Ssenyonga Mulinde Ali mubitundu bye Kotido Kabituwe.