ABABBIRA KU PIKIPIKI: Poliisi egamba yakakwata 13
Poliisi etegezezza nga bweyakakwata abantu 13 abakabinja akatambula ku boda -boda nebakuba abantu nebabanyaga mu bitundu bya Kampala ebitali bimu. Eyakasembayo okukubibwa yali mukugungu ku kitebe ky'eggwanga lya Ethiopia era nanyagibwa mu bitundu bye Kololo. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga wabula ssi musanyufu n'engeri bannayuganda gyebatunula obutunuzi nga omuntu alumbiddwa nebatadduukirira.