ABABAKA KU BY’ABASOMESA: Bagamba amateeka gabawa eddembe okwediima
Ababaka ba palamenti basabye gavumenti okwongera okuteesa n'abasomesa okusinga okubatisatisa okubagoba ku mirimu. Ababaka nga bakulembeddwamu Joseph Ssewungu bagamba nti ebiragiro bya gavumenti eri abasomesa okudda ku mirimu tebiri mu mateeka, kubanga abasomesa balina eddembe lyabwe okulaga obutali bumativu.