Ababaka baagala kaliisoliiso wa gav’t anoonyereze ku fakitole ye Soroti
Kaliisoliiso wa gavumenti asabiddwa okunonyereza ku mivuyo egyazuuliddwa mu nzirukanya yemirimu gy’ekkolero erikamula omubisi mu bibala erya Soroti Fruit Factory. Akakiiko ka palamenti ake’buyobusuuuzi wiiki eno kaavuddeyo ne alipoota eraga emivuyo egyenjawulo mu kkolero lino naddala okudumuula ensimbi ezeetaagibwa mu kuddukanya emirimu ku kkolero lino.