ABABAKA ABAKUKKULUMA LW’OBUTATEESA: Waliwo abawadde amagezi ku mujjuzo oguli mu Palamenti
Palamenti ya Uganda erimu ababaka 529 omuwendo bangi gwe baludde nga bagamba mungi ekisusse. Abagoberera z'ebyobufuzi bya kuno bagamba ekiteeso ky’abamu ku babaka eky’okukendeeza ku muwendo gwa Palamenti mwe batuula kyalwawo dda. Bangi ku babaka tebafuna mukisa kuteesa. Ogenda kuwulira n’abalina ekirowoozo ekya Palamenti okwawulwamu emirundi ebiri kisobozese ababaka abawera okukubaganya ebirowoozo