40 be baafa mu ggandaalo lya Paasika
Alipoota ya poliisi eya Easter eraze nga abantu 40 bwebaafiridde mu bumenyi bwamateeka nga ettemu lyabadde ku mwanjo n’abantu 10. Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga era atutegezezza nga abantu 345 beebakwatiddwa mu bikwekweto ebyakoleddwa nti era mwabaddemu n’abateberezebwa okubeera abebijambiya wadde nga bakyasunsula. Byo ebyokuyita abaayogera ku byobutwa okwekuusa ku nfa y’eyali sipiika wa palamenti Jacob Oulanyah, bijulidde kitongole kya poliisi ekikola ku kunonyereza oba CID.