‘Ssijja kukkiriza kuwalulibwa ku kaliba’: Wuuno namukadde akola dduyilo okuguma
Olwaleero lunaku lwa bakadde mu nsi yonna olukuzibwa buli mwaka nga ennaku z’omwezi 1 Ogwekkumi. Tukuleetedde emboozi ya Justine Rutabyama amaze emyaka 35 nga agenda mu gym nga ne mu myaka gye ensanvu akyagendayo era kye kimu ku by’agamba ebimuwonyezza endwadde ezaali zimulumbye.