OKWEDIIMA KW’ABANNANSI: Emirimu gisannyaladde mu malwaliro, gavumenti erabudde
Akeediimo kaba nnansi n'abazaalisa mu malwaliro ga Gavumenti akatandise olwaleero kasannyalaza obuwereza mu malwaliro nekaleka abalwadde nga bakonkomadde . Abalwadde abasinga bawaliriziddwa okunoonya obujjanjabi mu malwaliro amalala naddala abo abetaaga okukolebwako mu bwangu. Abatwala ekibiina ekibagatta bategezezza nti ssi baakupondooka okutuusa nga embeera mwebakolera erongoose omuli n'okubongeza omusaala. SsaabaMinisita Nabbanja wabula alabudde bannansi bano nga bwebagenda okukangavvulwa.