Okwanganga Embeera Y’obudde:Abalimi n’abalunzi e Kayunga beekubidde enduulu eri gav’t
Abatuuze mu bitundu by’omu district y’e Kayunga ne Buyende okusinga bayimiriddewo ku bya bulunzi n’obulimi. Kyokka embeera y’obudde ekyuse nnyo mu kitundu kino ereeseewo ekyeya ekikosezza ennyo ebirime byabwe n’ebisolo bye balunda. Yadde bano batandise okukozesa tekinologiya omuli n'ow’okufukirira ebirime, beetaaga gavumenti okubakwatizako basobole okwanganga embeera y’obudde. Ka tulabe ebisingawo.