Okukuba akalulu kw’akulira oludda oluvuganya: Ebbago ly’omubaka Lumu lisomeddwa mu palamenti
Wabaddewo okwebuuza ku butali bwenkanya eri ababaka ba palamenti abaagala nabo okukola enoongosereza ku teeka erirungamya emirimu gya palamenti oba administration of parliament nga bagamba nti obwangu omubaka wa Mityana South Richard Lumu bwafunye n’okulaba nga enoongosereza gy’aleeta etuuka ku biteesebwa mu palamenti ereetawo ebibuuzo.Leero omubaka Richard Lumu, asomedde palamenti ebbago lino , mw'ayagalira akulira oludda oluvuganya mu palamenti alondebwa ababaka abali ku ludda oluvuganya mu palamenti okwawukana ne bweguli nti ekibiina ekirina ababaka abasinga ku ludda oluvuganya kyekireeta omuntu akulira oludda oluvuganya.Bino bibadde mu palamenti olwaleero.