Kyarikunda ali mu ssanyu oluvannyuma lw’okulaba ku baana be
Kyaddaaki omukyala mu district y’e Kamwenge gwe twakulagako nga alaajana olwa bba okumulemesa okulaba ku baana be emyaka egisukka ena yamaze n’abafuna era ali mu ssanyu.Okumuggyako abaana, bba yamala kuganza muto wa Kyarikunda gwe yaleeta mu maka ge okumukwatako asobole okusoma kyokka n’afuuka muggya we era muto we ono ne yeegatta ne bba ne batandika okumulabya ennaku.
Oluvannyuma lwa NTV okukola emboozi y’omukyala ono, agamba ab’ekitongole ky’amakomera omwami gy’akolera baabatabaganya ne bba n’asobola okumuddiza abaana be.PATRICK SSENYONDO yazzeeyo n’anyumya n’okumyala ono ku ngeri gye yatuuse okuluna abaana be.