Empaka za Ppikippiki :Uganda esindise 8 e Netherlands
Uganda yakukiikirirwa abavuzi ba diigi munaana mu mpaka z'abato ez'ensi yonna ezijibwaako akawuwo ku lw'okutano lwa sabiiti eno mu ggwanga lya Netherlands. Abavuzi bano basiibuddwa olwaleero mu butongole ku kitebe ky'emizannyo mu ggwanga e Lugogo.