‘Ambulance’ y’eryato eyatwalibwa e Kalangala tekolangako
Tukizudde nga Ambulance y’okumazzi eyawebwa ebizinga by’e Sese mu mwaka 2023 nakati tekola nga omutawaana guva ku bbula lya mafuta.
Abawangaalira mu kitundu kino batugambye nti bukyanga baweebwa lyato lino tebalirabangako nga litwala abalwadde e busukka Nyanja mu bitundu bye Masaka okujjanjabwa, nga kiva ku mafuta amangi agetaagisa okutambuza elyato lino.
Minisita w’ebyobulamu Jane Ruth Aceng agambye nti mu mwaka gwebyensimbi guno gavumenti teyabawa nsimbi za kugulira maato gano mafuta- kale nabo nga emikono gyabwe misibe.