Omulabirizi w'e Hoima Vincent Kirabo avumiridde obuli bw'enguzi obufumbekedde mu ggwanga nategeeza nga bwekikontana n'omulamwa ogwattisa abajulizi ba Uganda.
Bino abyogeredde mu kusaba okubadde ku kiggwa ky'abajjulizi e Namugongo, okwetabiddwako abakkiriza okuva mu buvanjuba bwa Uganda.
Ye Minister w'ebyensimbi Matiya Kasaija asabye abakulira eddiini okuleka nga bannabyabufuzi okuwa obubaka eri abakkiriza nga obudde bukyali , kubanga ebiseera ebisinga abantu olufuna