Okuyisa amateeka g’olwaleero, eby’okwerinda bisiibye binywezeddwa ku palamenti
Poliisi egamba nti bafunye amawulire nti waliwo abantu ababadde basuubirwa okwekalakasa nga palamenti ye ggwanga eyisa ennongosereza mu bbago lya UPDF elyagala okuzzayo abantu babulijjo mu kkooti za maggye.Ab’ebebyokwerinda okuli ab'amaggye ne poliisi basiibye balawuna enguddo okwetolola palamenti okukakasa nti tewali aleeta kajagalalo konna nga palamenti ekola egyayo.