Omupiira gw’ebika: Enjaza 3 - 1 Obutiko
Empaka z'emipiira gy'ebika bya baganda zizeemu okutojera olwaleero mu bisaawe eby'enjawulo mu luzannya olw'okubiri ku mutendera gw'ebibinja.mugimu ku mipiira egisambiddwa ekika ky’enjaza kikubye Obutiko ggoolo 3-1 mu mupiira gw'ekibinja C ogubadde ku kisaawe kya Kibuli Secondary School.Ggoolo z’enjaza ziteebeddwa Ivan Kalyowa, Faizo Kyazze wamu ne Wahab Lukoya ate Hassan Luboyera nateebedde Obutiko.