Lwaki eby’obufuzi by’ensikirano tebyayambye muwala wa Cecilia Ogwal kuwangula Dokolo?
Ebyobufuzi by'ensikirano birudde nga biri ku mimwa gy'abannayuganda naddala bwekituuka ku bifo mu palamenti. Ozze olaba ngabaana badda mu bifo by'abazadde baabwe ababa bafudde ngebisanja byabwe tebinnaggwako nga bwegwali ku Andrew Ojok mutabani w'eyali sipiika Jacob Oulanyah, eyalondebwa ku kifo ky'omubaka wa Omoro. Wabula mu kuddamu okulonda okw'emirundi ebiri e Dokolo ne Oyam, kino sibwekibadde kubanga abaana b'ababadde ababaka bawanguddwa. Abatunuulira ensonga batukubidde tooki mu nsonga eno.