Ababaka b’oludda oluvuganya bafulumye palamenti ng’olutuula lutandika
Ababaka abali ku luda oluvuganya mu palamenti basazewo nti bagenda mu kkooti okuwakanya ekya palamenti okuyisa ebbago ly'ennongoosereza mu tteeka erirungamya emirimu gya UPDF, nga bagamba nti emitendera egigobererwa okuyisa amateeka gyonna mu palamenti tegigobereddwa ouli n'abakwatibwako ensonga obutaweebwa mukisa kuwaayo ndoowooza zaabwe.Bino babigambye bannamawulire oluvannyuma lw'okwekandagga nebafuluma ekisenge awateesezebwa nga bagamba nti tebagenda kwetaba mu nteekateeka ebadde erinnyirira amateeka.