Temusosola mu baagala kwewandiisa: Aba NUP e Mpigi batandise okwewandiisa
Oluvanyuma lw’akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu okulangirira okuwandiisa bannakibiina bonna kwetoolola eggwanga - aba Greater Mpigi nabo batandise okwewandiisa.
Bano balabuddwa obutasuubirayo ssente yonna era obutasosola mu bantu baagala kwewandiisa.