Okulwanyisa siriimu: Balumiriza bannaddiini okulemesa enkola ezimu
Ab’ekitongole ekirwanyisa akawuka ka siriimu, ki Uganda Aids Commission, benyamivu olw’abamu kubannadiini, abalwanyisa enteekateeka eziyamba mukulwanyisa okweyongera kw’okusaasana kw’akawuka.
Bano bagamba nti enkola nga okukozesa obupiira eyambako nnyo mu katangira okusaasana kw’akawuka kano wabula nga ezikiriza ezimu zitangira okukakozesa ekintu eky’obulabe.
Kati amaanyi bakugongera mukusomesa abo abalina okawuka okulaba nga bamira eddagala okutangira okukasaasanya.