Okulwanagana mu NUP: E Busia bataano baweereddwa ebitanda
Bannakibiina ki NUP e Busia baweereddwa ebitanda oluvanyuma lw’okulwanagana mu bo benyini.
Bano bagamba baabadde n’olukiiko lw’ekibiina kyabwe kyoka ekibinja ekirala nekiva eri nekibayingirira okukakkana nga balwanaganye.
Mu kulwanagana 5 baatemeddwa embale nga kati bali mu ddwaliro banyiga biwundu.