OKULONDA SIPIKA :Anita Among awangudde Asuman Basalirwa
Anita Among alondeddwa nga sipiika wa palamenti ya Uganda omugya nga addira Omugezi Jacob Oulanya mu bigere eyafiira mu ggwanga lya America gyeyali adusiddwa okujjanjabirwa. Among afunye obululu 401 nga gwabadde avuganya naye eyasimbiddwawo ab’oludda oluvuganya gav’t Asuman Basalirwa afunye obululu 66.