Okuddamu okufuna ndaga muntu: Minista Muhoozi alabudde abakulembeze ku bagwira
Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi alabudde ba sentebe b’ebyalo ne bambega ba government ku magomolola oba aba GISO okwewala okulya enguzi n’ebakirizza abagwiira okwewandiisa nga bannansi basobole okufuna endagamuntu y’eggwanga.
Gen. Muhoozi ng’ali wamu n’abakulu okuva mu kitongole okivunaanyizibwa okuwandiisa bannayuganda ki NIRA olwaleero basiibye Luwero nga bamanyisa abakulembeze mu bendobendo lino ku nteekateeka y’okuwandiisa bannayaganda okufuna ndagamuntu n’okuzizza obugya n’ategeeza nga obutuuze bwa Uganda sibwakutunda.