Maama w'omwana gwe baafulumya ekyenda asobeddwa
Bazadde b’omwana eyazaalibwa nga talina w’afulumira basobeddwa oluvanyuma lw’okubulwa ssente eziziba ebituli byebamuteeka ku lubuto. Ono yetaaga obukadde 3 omwana addemu alongoosebwe asobole okutereera z’agamba nti talina.