Kyabazinga akubirizza abasoga: Buli omu akakase nti abalibwa
Kyabazinga William Gabula Nadipe IV, akubirizza abantu ba Busoga okujjumbira enteekateeka ya gavumenti ey’okubala abantu.
Agamba nti singa abantu babalibwa, kiyambako gavumenti okubateekerateekera.
Kyabazinga abadde ayogerako eri ab’ekitongole ki UBOS, ababadde bamukyaliddeko ku Lubiri lwe olw’e Igenge.