Waliwo abaagala wabeewo ebikyuka mu amayufu ka NRM
Abamu ku babaka okuva mu kibiina ki NRM bagamba nti ekiseera kituuse wabeerewo okwogerezeganya wakati w’abakulu mu kibiina ssaako n’ababaka abaagudde mu kamyufu k’ekibiina okulaba nga bagonjoola ebirumira ebyalabikiddemu. Bano bagamba nti awatali ekyo ekibiina kyakusigala nga kigaaguuddwa olw'emitima emingi egitabudaabudiddwa. Ababaka bano era balowooza nti n'akamyufu ka NRM kaandikoleddwamu ennongoosereza ku ngeri gye kalondebwamu okwewala obumulumulu obubalukawo nga kawedde.