Okukyusa Ensigo: Mulago erongoosezza abantu bana
Ekibinja ky’abasawo abakugu okuva mu Uganda nga baliwamu ne banaabwe okuva mu bungereza - tukitegedde nti basobodde okulongoosa abalwadde be nsigo banna ne babateekamu ensigo endala nga bino byonna baabikoledde wano mu ddwaliro e kkulu elye mulago. Omu ku baganyuddwa mu nteekateeka eno ye mwana omuwala ow’emyaka ekkumi n’omukaaga- nga ye mwana akyasoose okukyusibwa ensigo, kko nomusajja owemyaka ataano mu omusanvu - nga ye mukadde akyasoose okukyusibwa ensigo. Mu kaseera kano - omuwendo gw’abantu abakakyusibwa ensigo gutuuse ku bantu mwenda.