“Mmwe Muvaako Emivuyo”: Kelezia eyambalidde bannabyabufuzi
Ssaabasumba w’essaza ekkulu elya Kampala Paul Ssemogerere munyikaavu eri bannabyabufuzi abagufudde omuze okuleetawo obutabanguko mu kadde k’okukuba akalulu, olumu ebivaamu n’okuyiwa omusaayi. Ssaabasumba bino abyesigamizza ku kulwanagana n’okuyiwa omusaayi okwalabikidde mu kulonda kw’ekibiina ki NRM okwakamyufu, okukakkana nga abantu abasoba mu 100 baggaliddwa abalala ne bagenda n’ebisago. Bino abyogedde ekeleziya etongoza enteekateeka yaayo kwegenda okutambuliza emirimu gyayo ey’emyaka etaano ng’eno essira eritadde ku kutaatira obulamu n’ekitiibwa ky’obuntu.