EMIPIIRA GY’AMASAZA:Kyaggwe eyolekeddwa okukubwa engasi
Essaza lya Kyaggwe lyolekedde okukubwa engasi oluvannyuma lw’okulemererwa okukoma ku bawagzi baalyo abaasiiwuuse empisa ne baagala okugajambula ddiifiri mu mupiira gwe baazannye olunaku lwe ggulo ne Butambala .
Omupiira guno gwabadde ku kisaawe kya Bishops SS e Mukono era nga gwaggweredde mu maliri ga goolo emu.