Yiino engeri abakazi b’e Ssese gye baziyizaamu embuto
Ku bizinga by’e Ssese, waliwo embeera y’obutettanira malwaliro aviiriddeko abamu ku bavubuka n’abantu abakulu okwettanira okukozesa empeke za panado n’amata nga bazimira okuziyiza okufuna embuto. Bangi beekanga ate embuto bazifunye era olw’okutya okugenda mu malwaliro ne basalawo okukozesa eddagala ly’ekinnansi okuggyamu embuto.Bino biri nnyo mu bizinga ebyesudde ekizinga ekikulu eky’e Buggala okuli ekitebe kya district eno olw’obuweereza okuba nga tebubatuukako bulungi olw’entambula enzibu ku mazzi.Abakugu batangaazizza ku bulwa obwolekedde abantu bano.