Ssentebe w’e Mpigi ayogedde ekyamusibya
Ssentebe wa district ye Mpigi Martin Ssejjemba azzeemu okukakkalabya emirimu gye, oluvannyuma lw'akaseera nga ameggana n'emisango gy'obuli bw'enguzi. Ssejjemba ono yakwatibwaku nkomerero y'omwezi oguwedde n'abantu abalala akakiiko k'amaka g'omukulembeze akalwanyisa enguzi era okudda yasoose kukkirizibwa kweyimirirwa. Ono alowooza nti wandibaawo bannabyabufuzi abeeyambisa akakiiko kano okumusekeeterera olw'okwagala okwesimbawo ku kifo ky'omubaka wa Mawokota South.