Ebya Dr. Kizza Besigye :PFF egamba kkooti ebisaagiddemu
Abakulira ekibiina ki Peoples Front For Freedom bagamba nti bandiwalirizibwa okukangula ku maloboozi, ssinga ekitongole ekiramuzi tekiikome kukola kyebayise okubalaatira mu musango gw’abantu baabwe okuli Dr. Col. Kiiza Besigye ne Obedi Lutale. Bano okuva mu mbeera kiddiridde ssabiiti ewedde Besigye ne Lutale obutaleetebwa mu kooti enkulu nga bwekyali kisuubira- nga kino kyava ku mulamuzi aguli mu mitambo Emmanuel Baguma okwerabira okuwandiikira ekitongole ekiramuzi okubaleeta mu kooti. Kati bano bagamba nti singa olw’okusatu lusukka nga ensonga za bantu baabwe tezikoleddwako,baakulaga obunyikaavu bwabwe mu lwatu.