Shamim Malende akwatiddwa nga yakava okujjanjabibwa
Poliisi ekutte omubaka omukyala owa Kampala, Shamim Malende kwossa abamu ku bawagizi be ku bigambibwa nti benyigidde mu kukuba olukungaana olumenya amateeka. Bano okwatibwa kiddiridde Malende N'abawagizi be okutambula mu luseregende lw'emotoka bw'abadde ava ku kisaawe ky'ennyonyi entebbe. Malende abadde ky'ajje akomewo mu ggwanga okuva e Kenya gy'amaze akabanga nga ajjanjabibwa.