OMUBAKA FRANCIS ZAAKE: Talabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa
Oluvannyuma lw'omubaka wa Munisipali Y'e Mityana Francis Zaake Okulemererwa okulabikako eri Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa olwaleero, ensonga ze kati zakuwulirwa mwaka ogujja. Ababaka abatuula ku kakiiko kano beemulugunyizza nga Zaake bwataabawa lunaku lutuufu lwalina kulabikako eri akakiiko kano wadde okusindika bannamateekabe okubaako nekyebategeeza. Wabula banamateeka ba Zaake bakukulumye nga bagamba omuntu waabwe abadde alina kulabikako eri akakiiko kano olunaku lw'enkya kale nga akakiiko kano okutuula olwaleero ssikyabwenkanya.