Okuttibwa kwa Sowedi Egumbye: Mukyala we ayagala afune obwenkanya
Famile y’omugenzi Sowedi Egumbye, poliisi gweyakubwa amasasi agamuttirawo ku lwokuna lwa wiiki ewedde e kamuli ku bigambibwa nti yali agezaako okulumba amaka g’omubaka wa Buzaaya Martin Muzaale n’ekigendererwa ekyokumutusaako obulabe eyagala bwenkanya. Bano nga bakulembeddwmu namwandu Sarah Auma,balumiriza police okubalemesa okuyingira mu musango okufuna obwenkanya ku nfa y’omuntu wabwe.