Okulondesa e Luweero, abalondesa badduse ne lijesita
Okulonda mu district y’e Luwero mu bifo ebimu kujjumbiddwa baana b’amasomero ng’abatuuse balumiriza nti balemeseddwa okulonda olw’okugibwa mu nkalala z’abalonzi,Songa waliwo n’ekyalo ewatabadde kulonda kubanga omutuuze omu yekka y’abadde mu register. Ate mu district y’e Nakaseke okulonda tekubaddewo ku byalo bibiri olw’ababade balina okulondesa okutisibwatisibwa n’ebadduka ne register. Songa waliwo n’omulonzi afiridde ku layini ng’alonda. Herbert Kamoga atalaaze ebitundu bino era y’alina ebisingawo.