OBUKULISITAAYO MU BUKIIKAKKONO :Engeri gye bwajja bubuna ebitundu bino
Eddiini y’abakkiririza mu Kristo yaleetebwa Abamiinsani mu Uganda mu kyasa eky’e 19 nga kiggwaako abaatuuka mu ggwanga mu mwaka gwa 1877. Abaminsani bano baali bakulisitaayo. Baabunyisa enjiri mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga mw’otwalidde ne mu bendobendo ly’obukiikakkono bwa Uganda omuvudde obulabirizi omukaaga obukulembeddemu okutegeka emikolo gya 2025 egy’okujjukira abajulizi. Patrick Ssenyondo y’atalaaze ebitundu bino n’azuula engeri eddiini gye yatuukayo.