Mmutulangirire oba tujje ku lwaffe” :Abaawanguddwa mu kamyufu balabudde
Akakiiko k’ekibiina ki NRM akaateereddwawo okuwulira okw’emulugunya kwa bannakibiina abatakkiriziganyizza na byavudde mu kulonda kw’akamyufu olwaleero katandise okukakkalabya egyako. Bano leero webuzibidde nga baakafuna okwemulugunya okuva mu bantu 25 okuva mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, nga bano bonna baawakanyizza ebyavudde mu kulonda.Tukitegedde nti batandikidde Namutumba, Isingiro, Hoima kko n’ewalala.