Eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya afudde
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gy'eyaliko Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda, Owek. Nelson Kawalya eyavudde mu bulamu bw'ensi mu kiro ekikeesezza olwaleero.Kawalya ayogeddwako ng'eyali omusaale mu kulwanyisa endwadde mu Buganda mu kiseera w'eyaweerereza Obwakabaka nga Minisita w'ebyobulamu ate era nga yakola kinene okuleetawo obumu mu Lukiiko lwa Buganda mu kiseera ky'emyaka omusavu gyeyamala nga alukubiriza.