Entekaateka Z’e Namugongo: Abalamazi abasoose batuuse
Entekaateka zigenda mu maaso ku biggwa By'abajulizi e Namugongo era tukitegeddeko nti lunaku mulindwa olwa 3 June we lunatuukira buli kimu kijja kuba kiwedde. Abalamazi abasooka bbo batuuse dda era abakulira ekiggwa ky'abakatuliki batubuulidde nti basuzizza abalamazi 100 abatuuse olunaku lw'eggulo.