ENSOMA EMPYA: Aba NCDC banjudde bye baagala bibeere mu ya S.5
Ekitongole ekisengeka eby’ensoma mu gwanga ki National Curriculum Development Center kyanjudde mu butongole enkyukakyuka ze kyagala zikolebwa mu by’ensoma by’abayizi ku mutendera gwa A’level oba Upper Secondary. Mu zimu ku nkyukakyuka zinno mwe muli abayizi ku mutendera guno okusoma wakati w’emyaka 2 kw’ettaano saako n’abayizi okusoma amasomo asattu gokka. Kunno bagya kwongerezaako essomo limu ery’emikono.