Bibiino ebimu ku bikwata ku essaza ly’e Lugazi
Omwaka guno 2025 essaza lye lugazi lyerigenda okukulemberamu okutegeka ebikujjuko by’okujjukira olunaku lw'abajulizi ba Uganda ku ludda olw’abakatolika. Guno gugenda kubeera mulundi gwa kubiri ng’essaza lino litegeka ebijaguzo bino,nga lyasemba okutegeka mu mwaka gwa 2003 kati gye myaka 22 egyakayita. Kati nga tutandika emboozi z’ebikujjuko by'abajulizi omusasi waffe PETER SERUGO agenda kutubuulira ebyafaayo by'essaza lino era gye tusinsidde okukuweereza olwaleero