Akamyufu e Lwengo, waliwo abawera okujja ku bwa nnamunigina
Mu District y'e Lwengo eby'okwerinda binywezeddwa wakati nga banna NRM bakuba akalulu k'akamyufu, era mu byaalo byonna ebikumi 438 ebikola district eno tewabadde buvuyo buli awo bwogerwako.Newankubadde okulonda kubaddewo, mubitundu ebimu kusoose kugotaana olw'abalonzi abamu obutalabikira mu register era gyebigweredde nga abeby'okwerinda babiyingiddemu.Kino kireseewo okwemulugunya mu bakulembezze nga n'abamu batisatiisizza nga bwebayinza okudda besimbewo ku bwa nnamunigina mu kalulu ka bonna.